SamKazibwe Dispatches

Mbalamusizza nnyo banaffe,

Kantwale omukisa guno okubaaniriza ku mukutu guno era nga wano we nja okuyitanga okubatuusaako pulogulaamu zange zonna ezokumpewo nezitali za ku mpewo.

Waliwo awalala wangi wemubadde mujja pulogulaamu zino era abantu abo mbeebaza naye mukimanye nti bye bafulumya sibirinaako buvunaanyizibwa.

Mbakakasa nti nga nsinziira wano, njakubatuusako amaloboozi agomutindo okusinga ago ge mujja ewalala so nga ne pulogulaamu ezo nja kuziwa emitwe emituuffu (egitasasamaza) nga bwekibadde ku mikutu egimu.

Mbaagaliza okuwuliriza okulungi.